LABA OKUSWALA! Bryan White alaze lwaki Zahara Toto amulwanyisa ku TV ku by’okusanyusa waaya, abotodde ebyama
Omugagga Bryan White (Brian Kirumira) agamba nti alina abantu bangi nnyo abamulwanyisa mu kiseera kino omuli n’okwagala okumutta.
Bryan White ali mu mawulire okuva sabiti ewedde ku bigambibwa abadde atulugunya abamu ku bakozi be n’okusingira ddala abawala omuli n’okubakaka omukwano omuli Stella Nandawula ne Vivian Matanda.
Bryan White ali mu mawulire okuva sabiti ewedde ku bigambibwa abadde atulugunya abamu ku bakozi be n’okusingira ddala abawala omuli n’okubakaka omukwano omuli Stella Nandawula ne Vivian Matanda.
Agamba nti Balaam Barugahara amanyiddwa nga ‘Ssaabavvulu’ y’omu ku bantu abamulwanyisa mu kiseera kino omuli n’okwagala okumutta era abikooye.
Bryan White era atabukidde munnamawulire Zahara Toto omukozi ku NBS TV ne Sanyuka TV okumwogerako kalebule nti abadde akozesa abakozi be.
Bryan bwe yabadde ayogera ku nsonga z’abantu abamulwanyisa ku ‘Face Book Live’ yagambye nti, newuunya Zahara Toto ne banne okumwogerako mu lugambo ate nga yabayamba nnyo mu offisi ye.
Ku nsonga eyo, kigatto waffe awayizaamu n’omu ku bakozi b’omugagga Bryan White ku nsonga za Bryan White ne Zahara Toto kyokka wadde agaanye okwatuukiriza amannya agambye nti, “Bryan White munyivu nnyo kuba Zahara Toto yamuwa ssente mpitirivu nnyo ne banne era baali bamusabiriza nnyo nga bagenze mu offiisi ye okukola amawulire kyokka mu kiseera kino bamulwanyisa kuba yagaana okuddamu okubawa ssente. Mu biseera ebyo, Bryan White yali alina okubeera mu lugambo ku Sanyuka kuba yali abawa ssente ng’abakozi mu nkukutu okumwogerako”
Mu biseera nga Bryan White alina ssente, yawa bannamawulire bangi ssente era bw’aba ddala kituufu yawa Zahara ssente, tewali buzibu kyokka ssente tezirina kumuggya ku mulamwa ku mulimu gwe.
Bw’aba Bryan White ddala alina emisango, buli munnamawulire yenna alina okuleeta ensonga nga bweri, eggwanga okumanya ebigenda mu maaso.
Mu kiseera kino tewali kabonero kalaga nti ddala Zahara Toto alwanyisa Bryan White kuba abawala abagamba nti yabakozesa beyogerera wabula nga munnamawulire omulala yenna, Zahara alina okuwa eggwanga amawulire amalungi n’amabi ku muntu yenna wadde Pulezidenti.

Bryan White bw’aba alina obukakafu nti ddala Zahara amulwanyisa, alina eddembe okuddukira mu kkooti.